Listen

Description

*MORNING BREAKFIRST BY MUKISA JULIUS LED BY THE HOLY SPIRIT

THE END TIMES /LAST DAYS

EPHESIANS* *4:17-24(ABAEFEESO)*
Kyenva njogera kino ne ntegeeza mu Mukama waffe, mmwe mulemenga okutambula nate, era ng'ab'amawanga bwe batambula mu birowoozo byabwe ebitaliimu,
18 nga bazikizibwa amagezi gaabwe, nga baawulibwa ku bulamu bwa Katonda olw'obutategeera obuli mu bo, olw'okukakanyala okw'omutima gwabwe;
19 kubanga beerabira okulumwa, ne beewaayo mu bwenzi, okukolanga eby'obugwagwa bwonna mu kwegomba.
20 Naye mmwe temwayiga bwe mutyo Kristo;
21 oba nga mwamuwulira, ne muyigirizibwa mu ye ng'amazima bwe gali mu Yesu:
22 mu bigambo by'empisa ez'olubereberye, mmwe okwambula omuntu ow'edda, avunda olw'okwegomba okw'obulimba;
23 era okufuuka abaggya mu mwoyo ogw'ebirowoozo byammwe,
24 okwambala omuntu omuggya, eyatondebwa mu kifaananyi kya Katonda mu butuukirivu ne mu butukuvu obw'amazima *1THESSOLONIANS* *4:13-17(ABASESSALONIIKA)*
13 Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.
14 Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alireeta bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.
15 Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.
16 Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira:
17 naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.

: *JOHN 14:3(YOKAANA)*
Era oba nga ŋŋenda okubateekerateekera ekifo, ndikomawo nate ne mbatwala gye ndi; nze gye ndi

*ABAGGALATIYA* *5:22-23(GALATIANS)*
22 Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza,

23 obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka.

*2CORITHIANS* *5:10(ABAKKOLINSO)*
Kubanga ffe fenna kitugwanira okulabisibwa Kristo w'alisalira emisango; buli muntu aweebwe bye yakola mu mubiri, nga bwe yakola, oba birungi oba bibi.

*OMUBUULIZI 9:10* *( ECCLESIASTES)*
Buli kintu omukono gwo kye gulaba okukola, okikolanga n'amaanyi go; kubanga tewali mulimu newakubadde okuteesa newakubadde okumanya newakubadde amagezi mu magombe gy'ogenda.